Ennimi

Essomo 2

Lwaki Yesu yalina okufa ku musalaba?

Bwe tuba tetwanukudde kibuuzo ekyo, amawulire ga Katonda amalungi gaba tegakola makulu.

Engeri yokka ey’okutegeera ensonga lwaki kwe kuwuliriza eky’okuddamu kya Katonda. Katonda agamba ye yennyini nga yeyagalidde yasalawo okujja abeere mu bulamu bwaffe okusookera ddala, oluvannyuma atufiirire okutununula okuva mu kibi tulyoke tutabagane naye olwo alyoke awangule okwagala kwaffe n’okwewayo kwaffe gyali.

Lwaki yakikola engeri eyo gye yakikolamu? Kubanga yasalawo akikole bwatyo.

Katonda agamba nti obulamu buli mu musaayi.Okusonyiwa kusobola okubaawo singa omusaayi omulongoofu guyiika. Era omusaayi omulongoofu gwokka gwe gusobola okuleeta obulamu obutagwawo kubanga gwo teguliiko kikolimo kya kufa .Ye nsonga lwaki Yesu omuntu yekka ataalina kibi yasalawo okufa ku lwaffe.

Katonda Yasuubiza okuva emabega yonna nti alitufiirira.Yesu bwe yatuukiriza obunnabbi, yalaga nti ebisuubizo bya Katonda bya mazima era byesigika. Yesu yatuukiriza obunnabbi obussukka mu 300 obwawandiikibwa edda nga tanazaalibwa.

Katutunuulire ebimu ku ebyo Yesu bye yafuna mu kusalawo okufa.

  1. Yaffa Atuleete eri Katonda.
  2. Omwoyo we yatuwa obulamu.Bwetufa eri ekibi tufuulibwa abalamu olw’omwoyo we.
  3. Yakubibwa ku lw’ekibi kyaffe era okubonerezebwa kwe kutuwa emirembe n’okuwonyezebwa.
  4. Okugonda kwe kwatuukiriza obunabbi.
  5. Yasasula ebbanja lyaffe eri Katonda bweyakomererwa ku musalaba n’atuukiriza obwenkanya bwa Katonda.
  6. Yalekebwawo ffe tusembezebwe.
  7. Yawaayo obulamu bwe nga yeyagalidde ffe tutwale obulamu bwe.Bwatyo bw’atuwa omukisa gw’okuwanyisa obulamu bwaffe atuwe obubwe.
  8. Yateekawo eky’okulabirako eky’okufuuka omuwereza, n’obuteyagaliza ffeka nga ebyo byatuuyitira okulongoosa ensi.
  9. Yatwala ekikolimo kyaffe bweyawanikibwa ku muti olwo tulyoke tufuuke ba ddembe okuva mu kikolimo ky’obuddu bw’ekibi.
  10. Yatereeza ebyo Adam byeyali ayonoonye. Adam omuntu eyasooka yali talina kibi mu ye naye ebikolwa bye ebibi byaleeta okufa mu nsi. Yesu yazaalibwa nga taliimu kibi naye okufa kwe kweyeyagalira awatali kibi kwaleeta obulamu mu nsi.
  11. Ye entandikwa era enkomerero era obulamu bwonna busengejjebwa kuyita mu ye.
  12. Yalega ku kufa, ffe tusobole okulega ku bulamu. Newankubadde yali talina kukikola, Yabikola byonna okulaga nti alina obuyinza ku buli kimu.
  13. Yafuuka omuweereza asinga obukulu bweyawaayo obulamu bwe ku lw’abo abaamukyawa. Mu kino alaga okwagala okw’ebuziba ennyo okusinga ekintu kyonna.
  14. Omusaayi gwe omulongoofu guwonya endwadde zaffe ne gutuwa obulamu obutaggwawo.

Ebyatuukirizibwa n’ebisuubizo nga binene nnyo ddala! Bitegeeza ki gye tuli?

Katonda agamba nti bwe twesiga nti Yesu yafa era yamaliriza byonna ku lwaffe, tufuna empeera ze zeyafuna. Yesu yatwala ekikolimo kyaffe, ffe tubeere ba ddembe okuva mu kikolimo ky’ekibi. Ekisuubizo kino kituwa obugumu nti nga bwe tufuna obulamu n’essanyu mu ye, atuwa amaanyi okumwagala n’okumugondera mu kifo ky’okwetabanga mu kibi.

Tetulina kuggwaamu ssuubi bwe tutunuulira emize emibi gye tutanaba kusobola kuwangula. Yesu yasasula ebbanja lyaffe Katonda asobole okutulaba mu maaso ge nga tuli balongoofu.Ekisuubizo kino kituwa obugumu nti tewali kiyinza kutwawula naye.

Tulokolebwa lwa kisa kya Katonda si ku lwa bikolwa byaffe, kale na bwe tutyo tetuyinza kwenyumiriza mu busobozi bwaffe. Naye era, enkyukakyuka mu bulamu bwaffe y’ekakasa obwesige bwaffe eri Katonda n’okwagala okwa namaddala eri Katonda. Okugeza, omusajja singa agamba nti ayagala nnyo mukyala we naye nga tamusoosowaza era nga tamulaga kwagala, abeera nga akakasa nti tamwagala bya ddala. Embeera eno ebeera efuula ebigambo bye obutaba na makulu newankubadde nga awulira omukwano mungi gyali.

Obwesige bwaffe mu ekyo Katonda kyali n’ebyo byatusuubiza bituwa ensonga n’amaanyi okutambulira mu bulamu bw’atubanja okutambuliramu. Bbayibuli etugamba nti kino kibaawo okuyita mu mwoyo omutukuvu. Era omwoyo omutukuvu bwe bukakafu nti Yesu atulinako obwannannyini era nti tutwalibwa nga abatuukirivu olwa ssadaaka gye yakola.

Obwesige bwaffe mu Yesu butuwa amaanyi okukasa kiki kye tuli ng’Abakulisitaayo nga tubeera mu bulamu obulongoofu. Kino tekitegeeza nti tugenda kuba abatuukiridde naye bwe tuba Abakulisitaayo Katonda atutuukiriza.

Ate bwe tusigala nga tuli beesigwa, tujja kufuulibwa abatuukiridde ddala mu bulamu obuddako.

Yesu yagamba nti tulinga amatabi ku muzabbibbu. Bwe tufuuka ababe tutandika okufuna ku bulamu bwe ng’ettabi ku muzabbibbu. Emirandira gye gituwa emmere ate ne gituyamba okukula nga Katonda bwayongera okutusalira tulyoke tweyongere okubala ebibala ebirungi.Ebibala byaleetera okukula mu ffe bye bino; okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumikiriza, ekisa, obulungi, okwegendereza, obwesigwa n’okwefuga.

Singa obulamu bwaffe bukyusibwa omwoyo wa Katonda okuyita mu kwesiga obulamu bwa Yesu n’okufa kwe ku lwaffe, olwo enkyukakyuka mu bulamu bwaffe ewa obukakafu nti okukkiriza kwaffe kwa ddala.Ebisuubizo bino bituwa obukakafu nti ebyo byeyamaliriza bwe yaffa byaffe.

Tetulokolebwa lwa bibala bya mwoyo. Bwe twefuga ne tuba n’emirembe, ebyo si bye bitulokola. Naye era bwe tubeera mu bulamu obutabala bibala, twebuuze oba ddala tuba Bakulisitaayo.

Omusaayi gwe ge mazzi ate obulamu bwaffe ge matabi. Twala obudde mu kitangaala ky’omwana olyoke ofune amaanyi era okule.

Gendako Ebuziba

Soma Isaaya 52:13 -53:12, ekitundu ekyo kirimu obunnabbi obwawandiikibwa emyaka nga 700 emabegako nga ne Yesu tannabeerawo. Kati bw’omala somako ne Yokaana 19:16-42. Wandiika ebirowoozo byo n’ebibuuzo ku bitundu ebyo ogabaneko n’Abakulisitaayo abalala. Ensonga eya Yesu okuba nga yafa okukuwonya ogiwulira otya?

Jjuuzi Lisiti Lisiti Ekiddako