Ennimi

Essomo 7

Katonda atuwa ebikozesebwa ebikola obulungi mu bulamu bwaffe ebituyamba okubeerawo ku lulwe. Bwe tutabikozesa, tulemererwa.

Obulamu buzibu! Obukulisitaayo si nzikiriza ekukweka awantu mbu oleme kufuna bikuluma. Katonda ate ye kyakola, kwe kukoleeza emitima gyaffe ate n’atugamba nti omuliro ogwo tugulage ne mu kizikiza mwe twazaalibwa. Atugamba okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri ya njawulo ng’ensi bwe tusuubira okubeera.

Bwe tulokoka, twetaaga okudaabirizanga obulamu bwaffe bwonna obulala. Tulya emirundi egiwerako olunaku. Twebaka essaawa nnyingi buli lunaku. Tunywa amazzi mangi nnyo buli lunaku. Kati ebitundu byaffe eby’omwoyo emmere yaabyo, mazzi n’otulo kwe kusoma Bbayibuli, okusaba n’okumusinza n’abantu abalala.

Ensi nkyafu. Tuteekeddwa okuba abatukuvu. Nga tuli mu bulamu buno, tujja kukasukirwa obukyafu ku mitima gyaffe buli lunaku. Okuyita mu maaso gaffe tulaba ebikyamu. Okuyita mu matu gaffe tuwulira ebigambo ebikyafu. Okuyita mu ngalo zaffe, tuwulira obulumi n’okufumitibwa okuva mu mikwano. Okuyita ku nnimi zaffe, tuloza ku butwa obukaawa. Okuyita mu nnyindo zaffe tuwunyiriza ekivundu ky’okufa.

Bikozesebwa ki Katonda by’atuwa okunaazaawo obukyafu, okusindika emabega ekizikiza n’okukyusa ensi etwetoolodde.

Okusookera ddala, nga bwe twayogedde edda, yabikkula enteekateeka y’obulamu bwaffe mu Bbayibbuli. Bwe tusoma ebyawandiikibwa mu Bbayibbuli ne tutereka ebisuubizo bya Katonda munda, endowooza zaffe zirongoosebwa n’emitima gyaffe ne gifuna amaanyi.

Ekyokubiri, atadde omwoyo omutukuvu munda mu ffe. Kati tusobola okusaba eri Katonda era ne tumuwulira ng’atuddamu. Kino kyongera okutulumiriza era ne kituwa amaanyi okubeera mu bulamu obw’enjawulo era ne kituyamba okukyusa ensi.

Ekyokusatu, yatutonda kumusinza. Bwe tumusinza, akussa okuyaayaana kwaffe era n’atandika okuwonya ebiwundu ensi byetuteekako.

Ekyokuna, yatutonda okunyumirwa n’okwagala abantu, ebisolo n’ensi mukama gye yatuwa naye nga tetussukka nsalo. Twetaaga okusoosowaza okubeera n’abantu n’okunyumirwa obutonde bw’omunsi.

Twetaaga okusoosowaza okumala obudde n’abantu abalala abakkiririza mu Katonda era abamwagala engeri gye tumwagalamu. Kino kituzaamu amaanyi era kitunyweza, kitukuuma okubeera nga ebintu tubikola kyenkanyi. Kino kiyitibwa Kkanisa. Ekkanisa si kizimbe kye tukungaaniramu oba okukungaana kwe tugendamu. Ekkanisa be bantu abaagala Katonda wamu naffe. Okumala budde (nga basoma Bbayibuli, basaba, basinza era nga bayambagana okubeera nga Yesu bwatugamba okubeera mu Bbayibuli) ekyo kikulu.

Abantu bangi batera okwebuuza oba nga kyamugaso nnyo okukungaanako awamu nga Abakulisitaayo. Naye ate Bbayibuli egamba nti eyo y’ensonga enkulu. Yesu yazuukira okuteekawo abantu ababeera awamu nga baagalana. Abantu abalongoofu mu Ye era nga bajjudde ye. Kino yakiraga bwe yazuukira okuva mu bafu n’alya ne mikwano gye, n’atambula nabo n’abakyalira ne mu bisenge byabwe.

Ekyo bwe kiba tekimala, olugero luno olusoomooza, omusumba lweyatunyumiza luyinza okutuyamba;

Olunaku lumu omusajja yajja eri omusumba n’agamba “Taata, muganda wange Pawulo aneggyeeko n’Abakulisitaayo abalala. Weetaaga ogendeyo oyogereko naye omumatize akitegeere nti yetaaga okukomawo.”

Omusumba bw’atyo n’agenda mu nnyumba ya Pawulo, n’akonkona ku luggi n’ayanirizibwa okuyingira.

Bwe yayingira bwati, yasanga Pawulo atunuulidde enkakaba omuliro ogwali gwesooza. Ne bebuuzako mu kasirise mu ngeri y’okunyeenya mitwe, omusumba n’atuula kumpi ne Pawulo weyali era naye naatunuulira omuliro enkakaba. Nga wayise akaseera omusumba n’akwata kimagalo ekyekyuma, n’aggyayo eryanda eryali lyokya n’aliteeka awo wansi awaakolebwa amayinja, n’anyeeya omutwe okutemya ku Pawulo, n’amwenyamu n’alinda. Bwe waayitaawo akaseera, eryanda ne liggwaako omuliro ne liwola.

Omusumba n’anyeenya omutwe okutemya ku Pawulo, n’alondawo eryanda n’alizaamu mu muliro. Nga wayise akaseera katono, eryanda lyali lizeemu okwaka nate. Omusumba n’aseka, n’anyeenya omutwe omulundi ogwasembayo okutemya ku Pawulo, n’asituuka okugenda.

Ffe lyanda eryo. Awatali muliro gw’abalala abatwetoolodde okubeera nga gwaka, naffe twesanga tuwoze era ne tuzikira. Twetaaga tusome Bbayibbuli zaffe, tukuze empisa muffe ey’okusaba buli lunaku, n’okusinza era tusoosowaze okutwalako obudde ne Bakulisitaayo bannaffe olwo tulyoke tuyambagane okugondera Katonda mu ssanyu.

Bwe tunaakola bino, Katonda ajja kutunyweza, kutuzaamu amaanyi era atuwe n’omukisa, atuwe n’emyaganya egyenjawulo okugabana enjiri n’abantu abagyetaaga ennyo n’okusinga bwe tugyetaaga.

Gendako Ebuziba

Somako Abagalatiya 5:22-26, Zabbuli 121:1-8, ne 1 Abakkolinso 12:20-13:13. Tolaba Katonda bwayagala tubeere? Saba Katonda akuwe amaanyi okubeera n’okwagala okwo kw’osomako mu byawandiikibwa. Oyinza kutandika otya okuteeka okwagala okw’engeri eno mu nkola? Biwandiike era ogende obikole.

Jjuuzi Lisiti Lisiti Ekiddako