Ennimi

Akatambi k'ebifaananyi ak'essomo 6

Essomo 6

Bw’oba otandise olugendo lwo ne Kristo, weesige kino nti ali naawe kubanga oyinza okwanguwa okuggwamu amaanyi.

Bwoggwamu amaanyi jjukira nti Katonda w’amaanyi okusinga buli kimu-nga mw’otwalidde n’obunafu bwo. Mwesige nti akyusa obulamu bwo era abufuula bupya.

Bwe tugwa era ne tukemebwa okulowooza nti tetukyalina suubi, twejjukiza nti tetukula kubanga tuli balungi (tetuli) naye kubanga Kristo akola mu ffe okuyita mu kumwesiga n’okuyita mu kumwagala, okumusaamu ekitiibwa n’okumugondera.

Yesu alina amaanyi agamala okutukuuma okuva eri okusalawo okubi? Ekyamazima agalina! Ebirungi byonna mu bulamu biva gyali. N’empisa zaffe ennungi ziva mu ye ng’akola mu ffe okuyita mu kukkiriza, okwagala n’okufuba.

Era mwesigwa okukukuuma eri obubi? Ekyo tekirimu na kubuusabuusa kwonna!

Kati naye lwaki tuwulira nnyo nga tetusobola? Kubanga era y’atuwuliza nga tetusobola tusobole okumwesigamako. Tokkiriza bunafu bwo kukusiruwaza. Bufuule ensonga lwaki weesiga Katonda okubeera amaanyi go.

Kakati kiki ekiggyawo obwesige bwaffe mu Katonda? Bwetwesanga obwesanzi nga tubuusabuusa oba ddala tulina amaanyi ag’okugondera ekyakyuka.

Twerabira Katonda Y’ani. Twerabira kiki kye tuli mu ye. Twayuuga mu kumwesiga nti alina amaanyi agamala okutukuuma obutalondawo kibi.Era ne tuganya emitima gyaffe okuwuguka okumuvaako okudda ku bintu ebirala.

Ensobi esembyeyo y’eringa entono ennyo naye nga ate ya bulabe nnyo. Buli nsobi yonna etandika bwetuganya emitima gyaffe okuva ku Kristo. Y’ensonga tulina okukuza empisa ey’okunyiikira okusoma Bbayibbuli, okusaba n’okusinza Katonda buli lunaku kubanga tuwuguka mangu ate era twerabira mu kaseera katono.

Tetulina kwerabira nti Katonda bulamu bwaffe. Ekitontome Kyobulokozikikozesa ebigambo bino “Kyusa obulamu bwange nfula mujja” kitutegeeza nti obulamu bwaffe tebuliddayo kusigala kye kimu oluvannyuma lw’okumanya Kristo, ensonga eri kikumi ku kikumi olwekyo kyali. Olinayo mukwano gwo oba ow’oluganda gw’oyagala ennyo? Lwaki obagala? Obagala lwakuba oli muntu mulungi?

Lumu, omuntu omu yabuuza omusajja oba ayagala mukazi we kubanga muntu mulungi. Kino omusajja kyamutabula era ne kimunyiizaamu.

Yamwagala kubanga yali wanjawulo. Yali tamwagala lwa bulungi bwe. Ekituufu kiri nti yali naye kennyini akimanyi nti si mulungi ate era ekyamwagaza mukazi we n’okusingawo kwe kuba nti yamwagala si lwa kuba yali mulungi.

Okwagala kwaffe eri Yesu bwe kutyo bwe kufaanana. Tekusinziira ku bulungi bwaffe bwenkana wa. Tumwagala kubanga wa njawulo. Buli lunaku tulina okulowooza ku ngeri ze ezeewuunyisa okutuusa lwe tuwulira nga okwagala kwe kujjudde mu magumba gaffe.

Bye tulina okukola okutuuka ku kino biri bisatu era bye bino; okusoma Bbayibuli, okusaba n’okusinza.

Olinamu okubuusabuusa kwonna oba kino kikola?

Soma ebisuubizo bya Katonda ebigamba nti talikuleka era talikwabulira.Agamba ajja kumaliriza omulimu omulungi gweyatandika mu ggwe. Yakwagala nga tonnamwagala era n’akulonda okubeera owuwe. Era nti tewali kisobola kukwawukanya na kwagala kwe okuggyako ggwe okumugyamu obwesigwa n’okwonoona nga weeyagalidde, era yakusonyiwa ate n’akukkiriza.

Bw’oba obuusabuusa eky’okuba nti azza buggya endowooza yo, wejjukize nti ekyo akikola okuyita mu kigambo kye. Bw’obuusabuusa nti olina amaanyi okugaana ekibi, wejjukize bweyakuwa amaanyi ebiseera ebiyise okuwangula obubi.Bw’obuusabuusa oba osobola okumwagala,wejjukize nti Katonda wanjawulo nnyo obutamwagala. Bw’obuusabuusa oba nga osobola okukola ekintu kyonna ekirungi, wejjukize nti buli kintu kirungi mu bulamu bwo kiva eri Katonda.

Tambulira mu bwetowaze, okwagala n’okugondera Kristo mu bikolwa nga okkiriza nti akukyusa era nti akyakufuula mugya.

Omwoyo wa Katonda abeera mu ffe munda, era nga atukyusa mu kwagala mu ngeri enzibu ez’okulaba. Tugabana ku bulamu bwe ng’omwana atannazaalibwa bw’agabana ku musaayi gwa maama we. Omwana ne maama basigala nga bantu ba njawulo, naye obulamu bwabwe bugattibwa mu ngeri ennungi. Mu ngeri y’emu omwoyo omutukuvu awa emyoyo gyaffe obulamu okuyita mu musaayi gwa Yesu.

Omwoyo we kyekyo kye tuwulira mu ffe nga tusaba era nga tusinza. Empulira ey’omwoyo we oyo abeera mu ffe ya nsonga nnyo mu bulamu bwaffe.Awatali kuwulira mwoyo we abeera mu ffe, tubeera banafu. Naye nga tuli naye, omwoyo we atufuula b’amaanyi okusinga omuntu yenna.

Gendako Ebuziba

Soma Abaruumi 12:1-21. Ekitundu kino kiraga enkyukakyuka ejja mu bulamu bwaffe bwe tuwaayo obulamu bwaffe eri Katonda mu kukkiriza okwanamaddala. Kitusunirako okuzzibwa obugya okw’omwoyo bwe kufaana ne bwe kuwulikika. Wandiika ogabaneko ne banno engeri Katonda gy’akukyusizaamu. Wa wakyasinze okukolako mu bulamu bwo kati? Tunulako emabega olabe engeri Katonda gy’akutambuzaamu mu bugumikiriza olugendo lw’okukuzibwa n’okukulira ddala. Osobola okulaba obukakafu nti abadde wakisa gy’oli?