Ennimi

Kakati osazeewo okubeera wo ku lwa Yesu…
Kati ki?

Bw'oba wali weebuzizaako ebikwata ku bukulisitaayo oba bulamu nabaki obukulisitaayo bwe bukuweerako amaanyi okubeeramu, eno kkoosi y'omukkiriza omupya weeri okukuyamba okutegeera enjiri n'okubeera mu bulamu ng'okola ebyo ebigirimu.

Tewakyali kwawukana wakati w'ebyo byetukkiriza n'enneeyisa.

Weewandiise otandike kkoosi y'enjiri ennyangu eno wammanga.

Bw'onoyingizaamu email yo, ojja kusindikirwa butereevu kkoosi ey'ennaku 10 mu kabokisi ko nga ya butambi bw'ebifaananyi obukunnyonnyola enjiri ennyangu.

Buli kitundu eky'okuyigirizibwa kuno okw'obutambi bw'ebifaananyi kirimu akatambi k'ebifaananyi ebiyiiye, okutendekebwa okw'ebuziba n'ebirowoozo ebikoleka okukuyamba okuteeka mu nkola by'oba oyize.

Oluvannyuma, ojja kuba osobola kulondawo okufuna okulungamizibwa okw'ennaku 30 mu kusoma Bbayibuli n'okusaba wamu n'engeri y'okwegatta n'okusigala mu kkanisa ennamu.

Kati ate, olinda ki?
Weewandiise mu eno kkoosi y'enjiri ennyangu okule mu kutegeera n'okwagala Kristo.