Ennimi

Essomo 4

Bwe twayogera ku ebyo Yesu bye yamaliriza bwe yatufiirira, twalaba nti okwesiga ebyo bye yeyogerako kituwa olukusa ku ebyo bye yasuubiza naye bye yasuubiza okufuuka ebya namaddala mu bulamu bwaffe, era twetaaga okukyusa endowooza yaffe n’empisa.

Okukyusibwa kutandika n’okusoma wamu n’okwesiga ebyo bye yeeyogerako n’ebyo by’atwogerako. Bino bye bimu ku byokulabirako bya Yesu bye yeeyogerako n’engeri gye byawukanamu ne byatwogerako.

  1. Yesu mulungi yenna. Ffe tujjudde obubi.
  2. Yesu yatwagala. Ffe twamukyawa.
  3. Yesu yatulonda. Ffe twamugaana.
  4. Yesu yagondera Katonda mu byonna. Ffe twajeemera ebiragiro bya Katonda.
  5. Yesu yabonyaabonyezebwa nga yeeyagalidde ku lw’abalabe be nga naffe mwetuli. Ffe tetwagala yadde okubonaabona ku lw’abo betwagala.
  6. Yesu yali muweereza w’abalala okusinga omuntu yenna ku nsi. Ffe tetwagala kuweereza twagala kuweerezebwa.
  7. Yesu yazuukira mu bafu. Ffe twatondebwa kufa, naye waliwo essuubi kubanga Yesu atuwa obulamu obw’obuwa.

Yesu Katonda ate era muntu ddala. Ye musajja asinga amaanyi eyali abaddewo, era yasalawo okutwagala era kunoonya okwagala kwaffe gyali bwetwali nga tukyali na balabe be.

Tewali asobola kukyusibwa Yesu nga tazze eri Yesu mu bwetowaze. Yesu si bufuusa,muntu amanyi ebirowoozo byaffe byonna.

Bbayibuli egamba nti Katonda awakanya ab’amalala naye awa ekisa abeetowaze. Bwe tugenda eri Yesu nga twagala kumukozesa bukozesa okufuna bye twagala, talitwaniriza. Okuggyako nga tukyuse okuva mu bibi byaffe ne tulondawo obulungi bwe, tetulimumanya yadde okufuna ku bisuubizo bye.

Embala y’okunakuwalira ebibi byaffe nga yegaseeko embeera y’okuyayaanira ennyo obulungi bwa Yesu n’okwesigira ddala ebisuubizo bye, bufuuka obulamu bwaffe obupya bwe tutambuliramu. Bwe tusoma ebyayogerwa mu Bbayibbuli, ne tusaba ne tunoonya n’okwagala kwe, embala yaffe ekyuka okuva mu eyo ey’amalala ne tufuuka beetowaze. Olwo ne tutandika okumufaanana.

Yesu alaba emitima gyaffe. Tulina okukula okutuuka ku mbeera ey’okukyawa ekibi olwo okunoonya obulungi bwe ne kudda mu kifo ky’obubi. Awo Yesu bwetunaamusaba okutusonyiwa, Ajja kutusonyiwa.

Bwe tunaagenda gyali n’obwetowaze obwanamaddala, atusisinkana bwe tumenyeka n’atandika okuyunga nate emitima gyaffe. Awo wetutandikira okulaba obulamu bwaffe mu bwesimbu, ne tubeera mu bulamu obukiriziganya n’amazima nti Katonda yasalawo okutukuza mu bulungi bwe, nti era Katonda atuwa obulamu, emirembe n’okwagala.

Tolaba nga bye tuyitamu okutuuka awo binyuma era n’engeri gye tuyingiramu nnungi nnyo?

Bw’oba owulira nga oswala olw’ebibi byo, kirungi! Dduka ojje gyali. Fukamira mu bwetowaze omwebaze olw’okukulaga amazima ge. Ekyo kye kikakasa nti Yesu ali mu kukunoonya mu mukwano.

Kyuka ove mu bibi, odde eri Yesu. Weemalire mu Bbayibuli.Wennyike mu kusaba. Fumiitiriza ku kiki Yesu kyali n’ebyo by’asuubiza okukola mu ggwe.Mugondere osobole okumusanyusa n’okubeera mu mukwano ogw’okulusegere naye. Jjukira nti omukwano gwe n’ebisuubizo bye, bye bikuwa amaanyi n’obuyinza okubeera mu bulamu obulongoofu.

Kino tekikyuka, kitukolebwamu buli lunaku. Bw’olemererwa, teweesalira musango yadde okuggwaamu essuubi. Ekiseera nga olemereddwa kye kiseera we weetagira ennyo okudda eri Katonda. Endowooza egamba nti ekibi kyo kya maanyi okusinga Katonda ya busiru era ya malala nnyo. Yesu yakwagala gwe nga tomwagala. Kati ekyo kitegeeza ne ku luno ajja kukusonyiwa kubanga kati oli mwana we. Asinga ekibi kyo, era akwagala n’okusinga bw’oteyagala. Weesige ekigambo ekyo awo tojja kuggwamu ssuubi.

Gendako Ebuziba

Soma 1Yokaana1, Abaefeso 5:8, ne Yokaana11:9-10. Bw’omala owandiike kyotegeera ku kusonyiwa ne kye kitegeeza “okutambulira mu kitangaala” kisabire, era okubaganye ebirowoozo mu bwesimbu ne mukwano gwo Omukulisitaayo eyesigika. Otambulira mu kitangaala? Bwe kiba si bwekiri, osobola kukyuka otya okuyingira mu kitangaala?

Jjuuzi Lisiti Lisiti Ekiddako