Ennimi

Essomo 1

Tulina amawulire amalungi. Katonda atusuubiza okutwagala n’okutusonyiwa ng’atuwa obulamu obutakoma, eddembe okutuggya mu kibi, n’okufuuka mikwano gye egy’okulusegere bwe tumwesiga era ne tumugondera mu kwagala.

Ekyo okikkiriza? Olaba kye kitegeeza gy’oli?

Bbayibuliegamba twazaalibwa kwagala, kugonda na kunyumirwa Katonda emirembe gyonna naye ate tetusobola.

Lwaki?

Kubanga twazaalibwa twawukanye ku ye mu ngeri bbiri.

Esooka, Tetumumanyi, ate tewali ngeri yonna gy’osobola kwagala muntu gw’otamanyi.

Eyookubiri, Tuzaalibwa n’okwegomba okubi okutwawula okuva ku bulamu, okutegeera n’okwagala kwa Katonda. Okwegomba kwaffe okubi kwe kutuleetako okufa, endwadde, obutali bwenkanya, entalo n’ennaku yonna eri mu bulamu.

Okwegomba kwaffe okubi kutwawula kutya ne Katonda?

Ekinnyusi ky’obubi kwe kweyagaliza ffeka na ffeka ekikosa enkolagana. Omusajja gy’akoma okusemberera ennyo mukyala we, gyakoma okutegeera ebigambo n’ebirowoozo ebinyiiza mukazi we. Bwekityo bwe kiri ne mu nkolagana yaffe ne Katonda. Gye tukoma okusemberera Katonda, gye tukoma okutegeera engeri obubi bwaffe gye bumenyawo enkolagana yaffe naye.

Katonda yayanukula atya bwe twayawukana naye?

Katonda Yasalawo okufuuka omuntu okukomyawo enkolagana yaffe naye.Omusajja oyo yali ayitibwa Yesu.

Lwaki kyali kya mugaso Yesu okufuuka omuntu?

Ekisooka, Asobole okukolagana naffe mu buntu. Ekyokubiri, Abeeereko mu ssanyu lyaffe, obulumi n’okufuba kwaffe. Ekyokusatu, Atwale ekibonerezo ku lw’ekibi kyaffe okuyita mu kufa ku musaalaba. Ekyokuna, Akomewo mu bulamu okunaaza amakubo gaffe amabi, okutukomyawo mu mukwano naye era n’okutuwa obulamu obutaliggwawo.

Ekimu ku byaleetera Yesu okufa ku lwaffe kwe kukakasa nti Katonda abonereza ekibi. Tetwandyagadde Katonda aleka obulesi ekibi nga tekibonerezeddwa. Okufa kwa Yesu kutukakasa nti Katonda ekyo tasobola kukikola kubanga yasalawo yeebonereze ku lw’ekibi kyaffe yadde nga ye yali talina kibi kyonna ky’akoze.

Ekigendererwa ekikulu kye yayagala kwe kutununula okuva mu kwegomba kwaffe okubi n’okukyusa emitima gyaffe tulyoke tubeere mu mukwano ogutuukiridde naye. Kino Bbayibbuli ky’etegeeza bweyogera ku “kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri” kitegeeza kukyukira ddala, okubeera mu bulamu obw’eddembe okuva mu buddu bw’okwegomba okubi, nga tuli ku lusegere lwa Katonda.

Ekyo kitegeeza nti amawulire amalungi tegakoma ku Yesu kutwala kibonerezo kyaffe.

Bbayibbuli etugamba nti oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Yazuukira okuva mu bafu era akyali mulamu. Atuwa obulamu obuwanyisiddwa. Obulamu bwe obutuukiridde ku bwaffe obumenyesemenyese.Bwe tukkiriza ekirabo kye kino ekyenjawulo, omwoyo we atandika okubeera mu nda yaffe era n’atuula mu kifo awabadde okwegomba kwaffe okubi era n’atuleetera okuyaayanira obulungi bwe.

Akaseera kaffe ak’okulongoosebwa n’okutuukirizibwa kayitibwa okutukuzibwa.Tetuli batuukirivu okutuusa nga tuvudde mu bulamu buno. Wabula, ebivaamu mu kaseera kano birabikirawo.

Era ebivaamu biyitibwa ebibala eby’omwoyo: okwagala, okusanyuka, emirembe, ekisa, obulungi, okwegendereza, obwesigwa n’okwefuga. Bwe tuba Abakulisitaayo tuba tukula mu bibala ebyo.Bwe tuba tetuli kye kiseera tweweeyo eri Katonda tweyongere okumusemberera nga tusoma Bbayibbuli, tuva mu bubi, tusaba era nga tumusinza.

Ffe ku lwaffe tetusobola kukuza bibala bya mwoyo. Omwoyo omutukuvu yekka y’asobola okukikola bwe tulaga okwagala kwaffe eri Kristo.

Bbayibuli egamba nti tulina okwetikka omusalaba gwaffe ne tugoberera Yesu. Ekitegeeza nti tulina okufa eri okweyagaliza kw’omubiri. Nga Yesu bwe yetikka omusalaba gwe ye (ekikozesebwa ekitulugunnya!) n’afa nga awanikiddwa ku gwo, bwe tutyo naffe tulina okukola kye kimu ng’akabonero gyetuli nga tufa eri okweyagaliza kw’omubiri.

Lwaki ekintu ekyo kikulu? Kubanga okweyagaliza kwaffe okw’omubiri kulwanagana n’okwagala kwa Katonda.Yesu ayagala twewereyo ddala era tumwesigire ddala.Agamba nti tuwanyise okwegomba kwaffe ku lw’okuyaayaanira eby’obwa Katonda. Eyo y’engeri gye tulagamu okwagala okuyita mu kuweereza okw’obwetowaze eri Katonda n’eri abantu be.

Bwe twewaayo ne tusalawo Katonda nga ye yekka atumala era atumatiza, atuwa amaanyi n’okuyaayaana okumugondera. Kiringa okumufuula empewo gye tussa. Sika omukka oyingize Yesu, kati fulumya omukka ogulimu Yesu. Kiddemu buli lunaku. Ekyo kye kituwa amaanyi okumwesiga nti bwatulagira okwagala abalabe baffe, era ajja kutuyamba okukikola.

Enkolagana yaffe ne Yesu y’enkolagana esinga okuba ey’okulusegere gye tusobola okubeeramu kubanga omwoyo we ali munda mu ffe. Enkolagana eno ejja kukyusa obulamu bwo bw’oneesiga era n’ogondera Katonda mu kwagala. Kati bw’onokolanga ensobi, ajja kukuyamba okusaamu Katonda ekitiibwa.

Oyinza okuba otandise okwebuuza oba nga engeri y’obulamu buno tekulemesa okunyumirwa obulamu obwa bulijjo. Tuli basanyufu okukugamba nti okwagala n’okugondera Katonda kutusobozeseza okunyumirwa emirembe gya Katonda n’essanyu ly’obulamu.

Newankubadde tetusobola kubeerera ddala ba ddembe okuva eri okwegomba okubi kwonna okuli mu bulamu buno, era nga tukyasobya, okwagala kwe tulina eri Yesu kutulemesa okuliikiriza okwegomba kuno era okwegomba kuggwamu amaanyi. Katonda akola kino tubeere ba ddembe nga tunyumirwa ensi n’enkolagana z’atuwadde mu bulongoofu.

Ekisuubizo abasinga ku ffe ekituzibuwalira okukkiriza kwe kukkiriza nti Katonda akyusa okwegomba kwaffe. Akikola era kya ddala.Singa si bwekiri amawulire amalungi tegandibadde malungi.

Lwaki Abakulistaayo tebeyongera kuba bangi ate abasinga tebabeera mu bulamu obulungi?

Buli mukulisitaayo yandibadde wa ddembe okuva mu kibi naye waliwo olumu lwe tugaana. Olumu ne tulondawo okukola obubi mu kifo ky’okugondera Yesu nga ate tumaze n’okufuuka Abakulisitaayo.

Abamu ekibagaana okubeera mu ddembe okuva mu kibi kwe kuba nti tebakkiriza nti kisoboka oba nti ne Katonda akigaba.Abalala bagaana okubeera mu dddembe okuva mu kibi kubanga kiriko omutango munene ogw’okuwa kuba kitwala kweweerayo ddala eri Katonda okwa buli lunaku okutakoma.

Kino kitegeeza ki?

Bwe tumala okwewaayo eri Katonda tulagirwa okugenda mu maaso n’okwewaayo. Kino kyetaagisa okubaawo buli kiseera kubanga olumu ffena twagala okwefaako ffeka na ffeka. Bbayibbuli kino ekiyita embala ey’ekibi. Embala eno etubeeramu okuva lwe tuzaalibwa okutuusa lwe tufa.

Bwe tukkiriza era ne twesiga Katonda, ne tukyuka okuva mu bibi, ne tusaba, ne tusinza, ne tusoma Bbayibuli ne tukungaana ng’abakulisitaayo b’omu kitundu awamu, omwoyo wa Kristo oyo ali mu ffe atandika okukyusa bye twegomba era n’atuwa eddembe erigenda nga lyeyongera okuva mu mbala y’ekibi.

Okukula kutwala budde. Toggwaamu suubi mu lugendo ate eky’okukula empola tokifuula kyekwaso n’olema okukulira ddala.

Okusaamu Katonda ekitiibwa kuleeta emirembe n’essanyu eby’olubeerera okusinga ekintu ekirala kyonna mu nsi muno. Tetuva mu kibi mbu kubanga kibi. Tuva mu kibi kubanga twagala tukkusibwe Katonda.

Katonda atuyita okumwegattako okukolerera ekitiibwa kye. Bwe tumala okwewayo gyali, atwagaza okugabana omukwano guno omulungi n’abalala, ekiyitibwa okubuulira enjiri n’okubayigiriza okugitambuliramu ekiyitibwa okuyigiriza.

Kyatuwa kirungi nnyo nti bwe tukibeeramu, tetusobola kwekomako obutamugabanako n’abalala. Bwe tumala okumulegako ne tulaba nga Mukama mulungi,kiri mu butonde bwaffe okuwulira nga twagala okugamba ku bantu nabo bawulire ku ddembe n’essanyu lye twaweebwa.

Ate era, gaagano amawulire amalungi (amawulire agasingira ddala obulungi): Katonda asuubiza okutwagala, okutusonyiwa n’okutuwa obulamu obutalikoma, okutuwa eddembe okuva mu kibi n’okubeera mikwano gye egy’okulusegere kasita tumwesiga era ne tumugondera mu kwagala. Bwe tusigala nga tuli beesigwa okutuusa ku nkomerero y’obulamu bwaffe, Katonda asuubiza okutuwa emibiri emipya egitaliiko yadde ekikolimo ky’ekibi ky’okwegomba, okufa, obwavu, naye tulibeera naye emirembe gyonna.

Amawulire amabi gali nti oyo yenna agaana ekirabo kya Katonda ajja kubonerezebwa n’ekibonerezo ekitakoma n’okwawukana ne Katonda ekyatutukako ffenna bwe twayonoona.

Amawulire amalungi aga Katonda n’amawulire amabi ag’ekyo ekibeerawo bwe tumugaana bye bifuula enjiri okubeera amazima agasingira ddala mu bulamu bwaffe.

Ekitubeezaawo kwe kugulumiza Katonda n’okumunyumirwa emirembe gyonna. Ebiseera bingi tulowooza okulondako wakati w’okubeera mu bulamu obw’okwesanyusa n’obulamu obw’okusanyusa Katonda. Ekituufu kiri nti okwewaayo eri okwegomba kw’omubiri okubi tekiyinza kutusanyusa kumala kaseera kawanvu nnyo. Okwetaba n’ekibi kuleeta okwennyika, okumenyekera ddala okutuuka mu mbeera nti omuntu takyerabamu mugaso n’okuyiga emize emibi ennyo. Ekibi ekitufuga kisanyaawo essanyu lyaffe ne kituleka nga tuli miwulenge era nga tuli bawuubaavu ekitufuula abaddu.

Bwe tusalawo okweraba ng’abaweereza ba Katonda abaagala obulungi bwe mu kifo ky’okubeera abaddu b’ekibi, okubeerawo kwa Katonda mu bulamu bwaffe n’ebirabo bya Katonda ebinene bye yatusuubiza mu njiri bituwa essanyu n’eddembe ebitasobola kugyibwawo kintu kyonna.

Kitwala byonna. Obujeemu bwaffe bugyibwawo okusonyiyibwa kwe, obulamu n’okwagala kwe okujjudde ekisa.

Engeri esingayo obwangu ey’okujjukira bino kwe kuyita mu ‘Ekitontome Kyobulokozi’:

Yesu Waffa ku musalaba
Nozukila okutununula
Kati nsonyiwa ebibi byange
Beera mulokonzi era mukwano gwange
Kyusa obulamu bwange nfula mujja
Mukama nyamba nze mbelewo kululwo

Gendako Ebuziba

Soma Yokaana 17, awo we wali essaala Yesu gye yatusabira ggwe nange obutereevu nga tannafa. Gezaako okuwandiika ku bikusanyusa by’onosanga mw’ebyo Yesu bye yayogera olwo nno osome era obeeko ebibuuzo by’okubaganyako ebirowoozo ne Mukulistaayo munno. Kiki ky’olowooza nga ggwe ku kya Yesu okukusabira?

Jjuuzi Lisiti Lisiti Ekiddako