Ennimi

Akatambi k'ebifaananyi ak'essomo 3

Essomo 3

Ekisinga okuba ekikulu mu kusuubira kwaffe kwe kumanya nti Yesu yazuukira mu bafu era mulamu emirembe gyonna. Singa Yesu yali akyali mufu, tetwandiyise mu bulamu bwe kyokka nga omwoyo we abeera munda mu ffe bye bimu ku birabo ebisinga obukulu by’agaba.

Obulamu ne Katonda busoboka kubanga okufa kwe kwatufuula balongoofu mu maaso ge ate bukakasibwa olw’okuzuukira kwa Yesu okuva mu bafu era n’okubeerawo kwe emirembe gyonna mu ggulu ne munda mu ffe. Eno y’engeri gye tusuubizibwamu okubeerawo emirembe gyonna bwe tulifa, kubanga tujja kwambulwa obulamu buno obuggwawo tusigaze obutaggwawo.

Yesu ye Katonda ye nnyini ate era muntu ddala. Adam ne Kaawa, omusajja n’omukazi abaasooka baakolebwa nga baakubeerawo emirembe gyonna naye okusalawo kwabwe okubi kwabaleetere okufa.Ekibi kye kijja okutuleetera naffe okufa. Ekibi y’ensonga lwaki ffenna tufa,naye Yesu mulamu emirembe gyonna kubanga talina kibi kye yakola.Kino kiraga nti yali Katonda kubanga Katonda yekka y’atuukiridde.

Wadde Yesu yafa, ekibi si kye kyamutta.Ye yennyini ye yawaayo obulamu bwe nga yeeyagalidde era okufa tekwamuyinza kubanga ye teyayonoonako.Obutuukirivu bwe bwamuwa olukusa okweddiza obulamu bwe.

Kale ekyo Yesu kyeyakola.

Yesu yazuukira okulaga amaanyi ge, obwa Katonda bwe, okulaga nti yali muntu ddala ate era nti alina obuyinza okutuwa obulamu n’okutuzuukiza okuva mu bafu. Naye ate ekisinga ku ebyo, yazuukira okutufuula nate mikwano gye egy’okulusegere emirembe gyonna.

Kino katwongere okukirowoozako katono.

Tetulina lunaku na lumu kulowooza nti tuli ku bwaffe kubanga Abeera mu ffe munda.Tumutuukako buli kiseera era buli lunaku.Tusobola okumusaba ne tuwulira nga ebirowoozo bye bivugira mu mitima gyaffe. Amanyi ebirowoozo byaffe era atwagala.Atuwa amaanyi okubeera mu bulamu obulongoofu.Tusobola okubeera mu kwagala kwe, mu ssanyu, emirembe, okugumikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, okwegendereza n’okwefuga,atuwa obulamu mu bujjuvu bwetumuwa obulamu bwaffe.

Bbayibuli etugamba nti ensonga yaffe lwaki tubeerawo kwe kubeera mu nkolagana ey’okulusegere ne Yesu. Okubeera okumpi ennyo naye okusinga omuntu yenna omulala yenna ku nsi eno. Okumwagala okusinga ekintu kyonna oba omuntu yenna, n’okumugondera mu ssanyu wamu n’okumusinza emirembe gyonna.

Kubanga ekitubeezaawo kwagala Yesu n’okubeera naye, Bbayibbuli ffe Abakulisitaayo etuyita “Abagole ba Kristo”Bbayibuli era egamba nti oyo amwegaana nga gumaze okumusinga.Amagenda gaffe gali mu mikono gya Yesu. Tewali akyawa Yesu aligwa mu mikono gye; bo ate bagenda kumwawukanako emirembe gyonna.

Eno y’ensasage erowoozebwako abatono. Abantu si bangi nnyo abakizuula nti essanyu lyonna oba obulamu bwetulina buva wa Katonda.Mu bulamu, tusobola okufuna obuntuntu obutusanyusa kubanga abutaddewo okutusanyusa. Bwe tulifa ebyo byonna biriggwawo, kati olwo nga tuliba tusigalidde kubeera ne Yesu ne mu ssanyu eritaliggwawo oba mu nsasage ey’okwawukana naye n’okulumwa obugigi.

Tutandika okukiraba nti emikono gya Yesu kye kifo ekisinga obulungi buli omu gye yandimalidde mu nsi eno. Eky’okuba nti tusobola okufuna emirembe n’obulamu nga tuli naye kwe kwesiima okusingayo mu bulamu.Omuntu yenna abaddeko ne Yesu ku lusegere lwe ajja kukugamba nti kye kisinga ebintu byonna.

Mu kusooka, okumuyingiza mu mmeeme zaffe kiwulikika nga ekitiisa kubanga atulaga obubi bwaffe n’atusindikiriza okwewaayo.Naye bwe twewaayo, aleeta okuwona okunyuvu era n’atuwa amaanyi okuguma era n’okukula.

Bw’ogoberera Yesu ne wewaayo gyali, ajja kufuuka essanyu lyo erisinga era ajja kukyusa obulamu bwo akufuule mulongoofu.

Kati bw’olifa, oligwa mu mikono gye egijjudde emirembe emingi.

Gendako Ebuziba

Soma Abaruumi 1:1-7, 1Abankolinso15:1-5, n’Abaruumi 10:9-10. Wano we wali ebisinga wo ebikwata ku kuzuukira n’ebyabaawo oluvannyuma lw’okuzuukira. Soma ne Danyeri 12:2, Yobu19:23-27, Isaaya 26:19-21, Koseya 6:1-2, Okubala21:9 (somako ne Yokaana 3:14-15 oyongere okutegeera biri byetujulizza), Zabbuli 16-9-10 ne Zabbuli 71:19-24. Wano we wali ebisingawo ebikwata ku kukuzuukira kwa Yesu n’ebikwata ku abo abafa nga babadde beesigwa gy’ali, n’ebyo ebyawandiikibwa edda nga Yesu tannatambulira ku nsi kuno. Wandiika biki okuzuukira kwa Yesu byekutegeeza gy’oli, na lwaki olowooza nti okuzuukira kwa Yesu okuva mu bafu kw’amakulu. Bw’oba olina ebibuuzo, mubyogerako n’Omukulisitaayo omulala.