Ennimi

Akatambi k'ebifaananyi ak'essomo 5

Essomo 5

Bwe tukyukira Katonda ne tuva mu bibi, atandika okubeera mu bulamu bwaffe. Afuuka obulamu bwaffe, essanyu lyaffe. Akyusa endaba yaffe ey’obulamu. Ekyo ekibeerawo Bbayibbuli ekiyita okuzza obuggya endowooza zaffe.

Ebintu bisatu ebikulu Bbayibuli by’eraga nga eyogera ku nkyukakyuka eno nga emusongako mu byakola bya mirundi esatu; Mulokozi, Mukama, era ow’Omukwano.

Bbayibuli etulaga bulungi nti Yesu yali muntu bwe yali nga tannafa ate era ne bweyamala kufa, abayigirizwa be n’abantu abaamwagala yabayitanga “mikwano.”

Yesu bwe yazuukira okuva mu bafu teyalagako nti abantu bamutta baali babi nnyo, okwawukanako ku ekyo ate yategekera mikwano gye ekyenkya, n’atambula nabo, n’abegattako ku kyeggulo. N’awalala yalabikira mikwano gye nga bali ewaka, n’abalaga enkovu ze, era n’alya nabo.

Yayagala okulaga nti ensonga enkulu eyamuleeta ku nsi esookerwako yali yakuzimba enkolagana.

Katonda wa buli kintu atuyita mikwano gye. Atuweereza era atwagala, nga naffe bwe tumuweereza n’okumwagala. Abeera munda mu ffe mu mukwano ogutakendeera, twagalana era tusanganamu ekitiibwa.

Bw’oba omwagala era nga okkiriza n’ebyo bye yeeyogerako, ojja kuva mu bibi byo era ojja okunyumirwa okwagala kwe n’amaanyi ge mu bulamu bwo.

Ekyamazima kiri nti ffe okufuna omukwano gwe, yeetaga okutununula mu kibi n’afuuka enkulungo y’obulamu bwaffe. Ng’omulokozi waffe, agenda mu maaso n’okutusonyiwa wamu n’okutufuula ab’eddembe. Ekyo twakyogerako ennaku eziyise.

Ate ekya Yesu okubeera Mukama?

Mukama kitegeeza omuntu alungamya n’obuyinza. Agamba “kola kino” n’abaweereza be ne bagonda. Bbayibuli egamba nti atubanja okubeera mukama waffe. Kye kimu ku byetaago by’okubeera mu mukwano naye.

Totabulwatabulwa. Tayagala mbu tulume n’amannyo gaffe nga tumugondera. Katonda abaddenga anyiigira abantu bangi abagonda nga beekaka. Wabula, Katonda ayagala abantu bagonde kubanga baagala okumusanyusa. Katonda ayagala tumuwe obulamu bwaffe nga kivudde mu kumwagala n’okumwesigira ddala nga tetukikola lwa buwaze.

Bw’oba owulira toyagala kumugondera na kumuwa bulamu bwo, nnyikirira Ekigambo kye (Bbayibuli) olowooze ku kiki kyali, ky’agamba ky’oli, n’ekyo kyeyakukolera. Kati awo otandike okunoonya okuyaayaana kwo gy’ali.

Kikino eky’okulabirako eky’omu bulamu obwa bulijjo ku ngeri gy’osobola okunoonya okwagala kwo eri omuntu. Abantu bwe baba bafumbiriganye, si buli kaseera nti bawulira nga baagalana. Naye buli omu bwayisa munne obulungi n’ekisa, omukwano gwabwe gugenda gukula.

Omukyala afunira omwami we ekirabo era aba ateereza ekirabo n’ajjukira obulungi bwa bba. Ekikolwa kyokka eky’okutegeka, okugula n’okuwandiika akabaluwa k’omukwano bimuyamba okulondoola omukwano gwe gyali kubanga buli lwajjukira kyali n’akisaako omwoyo, omukwano guzuukuka mu mutima gwe ne gufuuka gwa ddala ku lw’okumukkiririzaamu.

Bwe twejjukiza kiki Yesu kyali ne tulowooza ne ku bulungi bwe gyetuli, omukwano guzuukuka mu mutima gwaffe era ne gufuuka gwa ddala. Mu kutwanukula, akyusa bye twegomba n’atuwa amaanyi okumugondera nga kiva mu mukwano n’okwesiga ekyo kyali.

Ebisuubizo bya Katonda okufuuka ebyaddala mu bulamu bwaffe, twetaaga okukuuma omukwano gwaffe gyali nga tuyita mu kusoma Ekigambo kye, okusaba, okwesiga n’okugondera ebiragiro bye. Ebyo byonna bikyusa endowooza yaffe nga bwe tweyongera okumuyaayanira ng’Omulokozi waffe, Mukama waffe era mukwano gwaffe.

Ebyo byonna bye tuyitamu bikulu nnyo kubanga Katonda abikozesa okukyusa ekyo kyetuli. Akyusa ekyo kyetuli okuyita mu kwesiga ye kyali ng’Omulokozi waffe, Mukama waffe era mukwano gwaffe.

Gendako Ebuziba

Soma Abakolosaayi 1:15-23 era owandiike olukalala lw’abantu b‘oyagala abatawulirangako lwaki wasalawo okugoberera Yesu na lwaki omuyita Mulokozi, Mukama wo era mukwano gwo. Saba nti Katonda aggulewo emitima gyabwe era akuweeyo omukisa okugabanako olugero lwo nga Katonda bw’akyusizza obulamu bwo. Katonda akuwaddeyo ko ku mikisa gy’otakozesezza?