Ennimi

Akatambi k'ebifaananyi ak'essomo 8

Essomo 8

Bbayibuli eyitibwa ‘Ekigambo kya Katonda’ kubanga y’engeri Katonda gyakozesa okutunyonnyola kiki kyali, kiki kyetuli, wa gye twava n’ensoga lwaki tubaawo. Kikalubamu bwe tubikkula obubikkuzi Bbayibuli ne tugwa bugwi wonna wetugudde ne tutandika okusoma, tuyinza okutabulwa. Kino kisobola okubaawo kubanga Bbayibuli erimu ebitabo 66 ebyeyawudde ate nga byawadiikibwa abawandiisi ab’enjawulo okumala ebbanga lya myaka egirabika nga gisoba mu 2000.

Ebitabo bya Bbayibuli byawandiikibwa nga birungamiziddwa Katonda. Ng’oggyeko ekyo, Katonda yakakasa nti ebiri mu bitabo bya mazima era byava gyali. Ebitabo ebisinga byawandiikibwa nga bigendereddwa okutuusa obubaka eri abantu ab’engeri emu. Ekkanisa eyasooka yakungaanya ebitabo bino wamu, n’ebitegeeka mu kitabo kimu kati ekiyitibwa Bbayibuli. Byonna wamu biraga engeri Katonda gye yakolaganangamu n’omuntu okuva emabega yonna.

Ebitabo ebya Bbayibuli byawandiikibwa mu ngeri ez’enjawulo. Okugeza ekitabo kya Zabbuli, kitabo kya nnyimba na kusaba. Kijjudde enkozesa y’ebigambo bye tutalina kumala gatwala tutyo nga bwe tubisoma. Kyokka ate enjiri ya Yokaana, kitabo kya byafaayo ebyesigamiziddwa ku bulamu bwa Yesu.

Ebbaluwa nga ey’Abaggalatiya n’Abaefeso, zaali bbaluwa ezawandiikibwa abakulembeze b’ekkanisa abaasooka eri ekibinja ky’abantu abamu.

Waliwo ebitabo eby’obunnabbi, nga Isaaya n’ekitabo eky’Okubikkulirwa-obunnabbi obuwanvu, obuzibu obwawandiikibwa eri ekkanisa eyasooka.

Waliyo ebirala bingi bye weetaaga okuteegera.

Bbayibuli era eyawulibwamu endagaano bbiri. Endagaano enkadde ekolebwa ebitabo ebyawandiikibwa nga Yesu tannazaalibwa ate endagaano empya erimu ebitabo ebyawandiikibwa nga Yesu amaze okuzaalibwa.

Ebitabo bya Bbayibuli ebitaano ebisooka byawandibwa era byawandiikirwa ba Isirayiri okubannyonnyola entandikwa y’ensi n’ebisuubizo bya Katonda gye bali ate n’engeri gye yabafuula eggwanga.

Waliwo enzikiriziganya ez’enjawulo wakati w’omuntu ne Katonda mu Bbayibuli yonna. Enzikiriziganya zino ziyitibwa endagaano. Olwaleero tuli wansi w’endagaano ya Yesu. Ekyo nno kitegeeza tetulina kugobererera mikolo egya mateeka eginnyonnyolwa mu kitabo ky’Abaleevi oba Ekyamateeka, ebyali wansi w’endagaano enkadde Katonda ze yakola n’Abayudaaya. Emikolo egy’amateeka gye baakolanga gyalinga gikola ng’obubonero obusonga ku Yesu. Kati nno emikolo gino gyamalibwawo n’obulamu bwa Yesu n’okufa kwe.

Bw’oba owulira kantolooze mu mutwe gwo, sooka osse ekikoowe. Kati oddemu amaanyi kubanga byonna tolina bitegeera mulundi gumu kati!

Bbayibuli si kye kintu ky’olina okusoma nga oluwalo. Kye kintu kye weesanga obwesanzi ng’osoma. Kye kintu ekyagendererwa okusanyusa nga okisoma, okiyiga era okibeeramu obulamu bwo bwonna. Kyabugagga ekijja okukyusa endowooza yo n’omutima gwo.

Ebitundu bya Bbayibuli ebimu byangu byakutegeera okusinga ebirala. Ffe tulowooza wandisoose na kusoma Olubereberye (ekitabo kya Bbayibbuli ekisooka), wakiri osomeko kimu ku bitabo eby’enjiri (Matayo, Makko, Lukka oba Yokaana).

Bw’onomaliriza ebyo, biyinza okutandika okutegerekeka gy’oli kati awo genda mu Kuva, osomereko Ebikolwa by’abatume n’ebbaluwa eziri mu ndagaano empya.

Abaruumi n’Abaebulaniya bitabo bibiri ebizibu okusoma kyokka ate nga bituyamba okutegeera enjawulo eri wakati w’endagaano empya eya Yesu n’endagaano eziri mu ndagaano enkadde.

Waliwo engero ennyuvu ennyo mu Bbayibuli nnyingi. Mulimu n’ennyiriri z’obuzaale bw’abantu ezinnyonnyolwa n’amateeka g’Abayudaaya amazibu. Naye era osobola okukitegeera nti buli kanyomero ka Bbayibuli kalina ekigendererwa ekirungi era kasaana okwetegerezebwa kubanga Bbayibuli etuyamba okutegeera ffe baani, Ye y’ani, era tulina kubeerawo tutya. Etukuuma eri obubi, ky’ova olaba nga olina okwegendereza ekintu kyonna ekikulemesa okusoma Bbayibbuli yo. Essimu yo, obuzannyo bwa vidiyo n’ebirala.

Bw’oba tolina Bbayibuli weetaaga oguleyo, ezimu ku nzivunula za Bbayibuli ennungi era ennyangu okusoma mu luzungu ze zino ESV, NIV ne NLT. Bw’oba olina essimu ya ‘simaati’ osobola okuteeka Bbayibuli eziwerako ku ssimu yo, Bbayibuli n’oba nga ogisoma ku bwerere. Oba Bbayibuli gifunire ku Biblegateway.com.

Bw’oba okozesa essimu ya ‘simaati’ enkola esinga bw’oba oyagala kusoma Bbayibuli kozesa ‘you version bible app’ eleeta enzivunula eziwerako eza Bbayibuli, Bbayibuli eziwulirizibwa, ensoma ya Bbayibuli ey’omwaka eteekeddwateekeddwa n’ebitandikirwako eby’omwoyo. Bw’otandika okusoma Bbayibuli nga toteeseteese biyinza okukuyitirirako.

Waliwo enteekateeka z’oyinza okukozesa okusoma Bbayibuli yonna mu mwaka. Era zino ziyamba kubanga zikusobozesa okusoma obutundu obutonotono buli lunaku. Bw’oba owulira nga oyagala kusoma bingi, genda mu maaso. Naye kirungi okufaayo okuyiga owoomerwe ekigambo kya Katonda. Kye kintu ekitakyuka w’osobola okuzzibwamu amaanyi, okuggya amagezi ate n’obusobozi bwo okubeera mu bulamu obw’ekikulisitaayo buli mu ngeri gy’okoma okuyingiza Bbayibbuli mu mutima gwo n’endowooza yo.

Saba Katonda akuyambe okutegeera Bbayibuli. Omusabe akuyambe okuteeka ebiragiro bye mu nkola mu bulamu bwo obwa buli lunaku. Tosuulirira kusoma na kuwuliriza Bbayibuli. Teweganya kugyerabira. Oyinza okulowooza nti gwe toli musomi, naye Bbayibuli ejja kufuuka ekyobugagga kyo ekisinga byonna by’olina kubanga ebyo bigambo bya Katonda gy’oli.

Gendako Ebuziba

Funa Bbayibuli, onoonye awali “enteekateeka y’okusoma Bbayibuli mu mwaka.” Otandike okugoberera enteekateeka eyo.