Essomo 9
Okusaba kubeera kwogera na Katonda.
Yesu yatuwa ekyokulabirako mu kye tuyita “essaala ya Mukama waffe” mu Matayo 6:9-13. Essaala eno kyali kya kuddamu eri omu ku mikwano gye eyamubuuza butya bwetuba tusaba.
Naye ate era waliwo engeri ez’enjawulo nnyingi ez’okusaba nga era bwe tunyumya ebika by’emboozi ez’enjawulo ne mikwano gyaffe. Tusobola okusabira abantu abalala. Tusobola okwesabira. Tusobola okusaba obukuumi, okuwona, amaanyi n’amagezi. Tusobola okwebaza Katonda olw’obulungi bwe, okusaasira kwe n’okusonyiyibwa. Tusobola n’okumwebaza olw’ebyo byatuwadde oba ne tumugamba ne ku byetweralikiridde, byetutya, bye tubuusabuusa n’ebibuuzo.
Byonna ebyo birungi!
Katonda ayagala tusabe mu bwesimbu. Amanyi ebirowoozo byo. Saba n’omutima gwo gwonna. Genda gy’ali mu bwetowaze n’okwebaza n’obugumu.
Saba nga emikono gyo ogiwanise oba nga ogitadde ku bisambi byo, oba nga ogiwumbyeko. Saba ng’ozibirizza oba ng’otunula. Tambula, yimirira, tuula, vunnama oba galamira wansi. Saba ku makya oba olweggulo, emisana oba olunaku lwonna.
Togezaako kuwulikika ng’akozesa obukodyo obungi nga oyogera. Katonda tamatizibwa bigambo byo ebirungi ennyo. Amanyi n’okusinga by’omanyi. Beera bubeezi wa mazima. Beera ggwe era oyogere ne Katonda mu kitiibwa, mwesige nti ayagala okuwulira essaala yo era nti ayagala okubeera naawe.
Sabako wekka ate saba n’abalala. Okusabira awamu kintu kirungi. Kituleeta awamu ate era ne kisanyusa Katonda.
Totiisibwatiisibwa bantu abo abawulira emirembe nga basabira mu maloboozi aga waggulu. Okusaba tekwesigamizibwa ku bantu, okusaba kulina kutusembeza eri Katonda nga twanjuluza emitima gyaffe gy’ali. Omuntu bwakujerega olw’engeri gy’osabamu ekyo kiba kiraga kyali tebuba buzibu bwo. Kiraga okwepanka ate okwepanka si kwa bwa Katonda.
Buli Mukulisitaayo alina okweyigiriza empisa ey’okusaba. Kino kitegeeza okuteekangawo essaawa eya buli lunaku ey’okusabirangamu. Ekyo bw’otakikola okusaba kulina engeri gye kuvaawo mu bulamu bwo, bw’oba totandise nakuteekawo budde bwanjawulo obw’okusaba. Tandika n’eddakiika kkumi na ttaano. Okuteekawo obudde bw’okusaba ku makya nnyo nga tonnatandika lunaku, kyandibadde kirungi. Kiyambako okusinga bwewandibutaddeyo ekiro kubanga osobola okuba nga okooye, oba nga olina by’okola oba ne wabaawo ebikuwugula. Okusaba kulina engeri gye kukyusaamu entambula y’olunaku lwo mu ngeri ennungi.
Obudde bwo obw’okusaba bwawulemu ebitundu eby’enjawulo. Ojja kwesanga nga kiyamba okuwandiika enteekateeka yo ey’okusaba osobol okubaako w’onatunula singa oba ofunye obuzibu okulowooza eky’okusabira.
Eno y’engeri emu y’okusaba: Ekisooka, weenenye ensobi z’okoze osabe ne Katonda akusonyiwe. Kakati bw’omala otwaleyo ku ddakiika entono ng’omwebaza olw’obulungi bwe, okusonyiyibwa, obukkakkamu n’okwagala kwe. Yongera otwaleyo eddakiika endala ntono nga omutendereza olw’obwesigwa bwe n’amaanyi ge. Sabira amaka go ne mikwano gyo. Twalayo obudde ng’osirise ng’olinda ku Mukama ayogereko naawe. Kati twala obudde bwonna obuba busigaddeyo ng’ogamba Mukama akwambaze amaanyi ng’oyingira mu lunaku lwo.
Osobola okukozesa ne Bbayibuli okukulungamya mu kusaba. Okugeza, sooka osome Bbayibbuli, awo olyoke oyogere ne Katonda ku by’oba osomye, omusabe akuyambe okutegeera ebiba bikutabuddemuko.
Empisa ennungi zitwalamu ku budde okukula. Kale nno gumikiriza omulimu nga gukolebwa, weegumikirize lwakuba era teweenafuya.
Bw’omala okunyiikira okusaba eddakiika zo kkumi na ttaano, abantu abasing bawulira nga bagala okuwanvuyako ku budde bwabwe obw’okusaba. Ekyo nno kirungi! Era twakizuula nti kisigala nga kiyamba okugabanya obudde bwo mu kusimba essira ku bintu eby’enjawulo. Kitutaasa ebintu obutatuyitirirako n’okutulema ne bitulema.
Okusaba kulina okuba n’ekiruubirirwa era ng’okwagala bwekuli nti kulina okuteekebwa mu nkola okufuuka okwaddala.
Tuyaayaanira enkolagana ey’oku mwanjo ne Katonda okusinga ekintu kyonna. Era enkolagana eyo ey’ebuziba etukyusa.
Katonda atuyita okusaba. Ayaayaanira ffe okwogera naye. Okwogera ne Katonda kimatiza emmeeme zaffe okusinga ekintu kyonna bwe kiyinza. Bwetulekayo okusaba tuba twerekeredde ffe kennyini wamu n’abantu be twagala. Tumaleko obudde ne Katonda, olwo kimusobozese okutunyweza n’okutuzzaamu amaanyi buli lunaku.
Ayagala okutukkusa n’okutusanyusa mu kubeerawo kwe. Ayagala okubeera naawe, olyoke omumanye era omunyumirwe.
Tekangawo obudde bwo ne Mukama mu lunaku lwo oba si kyo olunaku lujja kukumalawo nga tomufunidde budde. Bw’onosulirira okusaba ojja kwesanga oweddemu amaanyi, owuubadde, ogwe ne mu kibi. Naye bw’onooba mwesigwa n’onyiikira okusaba, Katonda ajja kukuwa empeera gy’otalowoozangako.
Ye obadde okimanyi nti Katonda akusabira?
Gendako Ebuziba
Saba mu ngeri zino okumala eddakiika ttaano buli kimu; mutendereze, yatula ebibi byo, somayo zabbuli, weebaze, sinza. Lindamuko ayogere naawe; gabana ebyetaago byo ne Katonda, sabira abalala, saba okuyita mu Zabbuli 23 oba Zabbuli endala yonna esobola okweyambisibwa mu kusaba; fumiitiriza ku kiki Katonda kyali, musabe akunyweze obeere nga ye, omalirize nga era omwongera ettendo.