Ennimi

Essomo 10

Ekkanisa ye muntu yenna eyalokolebwa Katonda. Ffe kkanisa.

Bwe tugamba nti tetwetaaga kkanisa tuba ng’abagamba nti, ‘tetwetaaga Bakulisitaayo balala bonna nti era naffe tetwetaaga kubeera Bakulisitaayo ffe kennyini’.

Tuli famire ya Katonda. Okubeera ekitundu ku famire eno kituyamba okubeera mu bulamu obw’ekikulisitaayo. Buli omu yeetaaga munne kubanga awatali ekyo tewaba famire. Bwe tuba tetwewanirira mu kwagalana, tujja kugwa. Katonda yatukola okubeera naye nga tuli wamu. Bwe tuba tetusobola kubeera wamu n’abantu abalala, awo tuba tetujja kubeera balamu.

Nga eryanda erigyiddwa mu muliro naffe bwetutyo bwetuneeyawula, omuliro gwaffe gujja kuzikira. Naye bwe tuba twetooloddwa Abakulisitaayo abalina emitima egiri ku muliro, naffe ennimi zaffe ez’omuliro zijja kwaka n’okusingawo.

Bbayibuli etugamba obutalekaayo empisa ey’okukungana. Bw’oba tokungaana na bakkiriza banno obutayosa, okusoma ku Bbayibuli, okusaba, okwezzaamu amaanyi, okutambulira mu bulamu obwekikulisitaaayo, ojja kwesanga ogudde okuva ku Katonda. Okubeera n’Abakulisitaayo abalala mu ngeri eno kituyamba okukula. Ate era kituzzaamu amaanyi era kitusanyusa. Kitusika okutuggya mu butonde bwaffe obw’okwefaako ffeka.

Tetukungaana bukungaanyi mbu kubanga tulina okukungaana. Tukungaana kubanga eky’okukungaana awamu kirabo. Tekitegeeza nti tulina kusisinkanira mu mayumba ga mikwano gyaffe Abakulisitaayo newankubadde ekyo nakyo kirungi era kya mugaso, twetaaga ekisinga ku ekyo.

Kiki ddala kye twetaaga?

Twetaaga emikwano egitwagala, okwekebera nga ffe, enjigiriza enywevu, okwesigama ku Bbayibuli mu buli kimu n’okukozesa emikisa egibaawo okusembereza ddala abantu eri Kristo.

Twetaaga okubeera wansi w’abasumba n’abakadde ababa baaweebwa ebifo ebyo nga bamaze okukakasibwa olw’obwesigwa bwabwe mu mbeera z’obulamu bwabwe era nga bakulidde ddala mu kumanya Katonda n’ekigambo kye. Bwe tuba tetuli wansi w’obuyinza bw’abasomesa abalina ebisaanyizo era abakola bye babuulira, okukkiriza kwaffe eri Katonda kuyinza okukyuka ne kudda ku ekyo Katonda ky’atayagala.

Abantu abasinga tebaagala kubeerako babatwala era tebaagala babagambako bwe baba beeyisizza mu ngeri emu. Tekituwuliza bulungi okutugamba obulamu bwaffe okutuunulirwa n’okugambibwako bwe tuba tuwaba nti tulina okukyuka. Naye bwe tutagambibwako, ensobi zaffe zikula ne zitulika omulundi gumu ne zikosa abantu.

Kakati okubeera wansi w’ekkanisa erimu abasomesa abalina ebisaanyizo nga bafaanana Bbayibuli by’etulaga kitukuuma nga tusobola okugambibwako.

Okubeera wansi w’abasomesa abalina ebisaanyizo kitukuuma okuva eri abantu abatyobola abalala. Kituwa abantu gye tusobola okugenda okufuna obuyambi singa tuba tuyisiddwa bubi. Bulijjo twetaagayo omuntu ayinza okututaasa.

Eky’enkomerero, kitumanyisa ekitundu n’engeri ze tuyinza okukozesa okuyamba abalala okubaleeta eri Kristo. Tetuyinza kwerabira nti oluvannyuma lwa Katonda okukyusa obulamu bwaffe, atugamba tusomese n’abalala ebimukwatako.

Kyangu okubuulira enjiri mu kifo ekitali kiteeketeeke nnyo naye ate okufuula abantu abayigirizwa kyetaaga okwewaayo okw’akaseera akawanvuko. Abantu tubayigiriza nga tugondera abasumba n’abakadde abatukuuma obutakulembera bantu mu bukyamu oba okulumya abo ate betwagala okuyamba.

Ozuula otya bakkiriza banno? Ekisooka, saba Katonda akuyambe. Oluvannyuma buuzaako ku bantu abakwetoolodde. Weetegereze abantu ababeera mu bulamu obulongoofu, abalina obulamu obujjudde okwagala era ozuule na wa gye basabira. Tandika okukyalako mu makanisa. Noonya ekkanisa erina abantu abaaniriza, ab’amazima ate nga baagala. Noonya abasumban’abakadde abakkiriza obuterevu mu Bbayibuli by’esomesa nga tebabuusabuusa Bbayibuli by’esomesa. Kakasa nti bye basomesa babikola ate nti ne bye boogera babikkiriza. Olumu bayinza okuba tebabikkiriza.

Ekkanisa yonna gy’ogendamu, abantu baagalana era baweerezagana? Baagala Bbayibuli era bayambagana okussa mu nkola okukkiriza kwabwe mu ngeri eza namaddala z’owulira era z’olabako? Tewali yatuukirira! Naye osobola okulaba enjawulo wakati w’abantu abatafaayo nti oba obulamu bwabwe butambula bulungi n’abantu abatasanyukira nsobi zaabwe.

Weebuuze ekibuuzo kino: Katonda asinzibwa era aweebwa ekitiibwa mu kifo ekyo?

Teriiyo Kkanisa etuukiridde era nga bwe wataliiyo bantu batuukiridde. Funa bufunyi kkanisa eteredde. Gendayo nga toyosa ate teweemulugunya. Beera enkyukakyuka eyo gy’oyagala okulaba. Noonya empenda mw’osobola okuyita okuzaamu amaanyi famire yo eno mu Kristo. Abantu baagalire ddala. Weereza n’okwagala mu mutima omulongoofu si mu mbeera yakwagala bakuyite ‘mulungi’.

Kitegeere nti tuli bantu era nti buli omu yeetaaga munne. Oyinza obutamanya, naye nga omuntu oyo akunyiiza Katonda ayinza okuba yamussa mu bulamu bwo akuyambe okukula ate nga naawe oyinza okuba wajja mu bulamu bwe omuyambe akule mu Kristo. Mubeere mu mirembe era awamu musseemu Katonda ekitiibwa. Eyo ye kkanisa.

Gendako Ebuziba

Zuula ekkanisa otandike okusabirayo Sande eno. Wandiika ebirowoozo byo ku ebyo by’oyiseemu n’engeri gy’oyisibwamu mu mwoyo ne mu mubiri.

Jjuuzi Lisiti Lisiti Ekiddako